OLW'ABAFU BONNA (ALL SOULS) || Daily TV Mass ||SUNDAY MASS 02nd Nov, 2025

OLW'ABAFU BONNA (ALL SOULS) || Daily TV Mass ||SUNDAY MASS 02nd Nov, 2025

Our Lady of Africa Mbuya Parish Catholic Mass Today -Olw'Abafu Bona (All Souls) - Ab'oluganda abaagalwa, waliwo ebigambo ebirungi, Paulo Omutume byakozesa ng'atulambika ku nsonga y'abafu Agamba bwati: "Sitwagala muwubwe ku abo abagalamidde, muleke kunakuwala. ng'abantu abalala abatalina ssuubi. Oba tukkiriza nga Yezu Kristu yafa n'azuukira n'abo nno abeebase mu Yezu Kristu, Katonda alibakomyawo wamu naye." (1 Tess 4:13-14). Ebigambo bya Paulo, bigambo bya ssuubi, bikubagiza nti Aboluganda baffe abo newankubadde baafa, baava ku nsi kuno, tebaazikirira. Olwokuba nti mu kufa ne mu kuzuukira kwe. Omulokozi waffe Yezu Kristu, yatuggulirawo omulyango gw'Eggulu, N'olwekyo, abo bonna abaafiira mu Kristu baalina omukisa, ogw'okufa nga ye; era baakugabana ku kuzuukira kwe Olwaleero, tusabira abaafa, kuba ekirowoozo n'ekikolwa kino kirungi era kya kwagala. kutuufu. Tubaagaliza era tubasabira, Omukama abatukuze, basaanire okubeera naye mu Ggulu, Katonda mutukuvu, awo nno buli yenna asuubira okubeera mu Ye, yeetukuza (1 Yoanna 3:3). Yensonga etusindika okusaba ekitambiro eky'okuddabiriza kisabirwe abaafa, bwe batyo basobole okusonyibwa ebibi byabwe. (2 Makabewo 12:45-46) Okusabira abafu kye kimu ku bikolwa, ekisa bye kitusindika okukolera abalala (Spiritual Works of Mercy).. Buli omu mu mwezi guno yebuuze, kikolwa ki ekyekisa kye nsobola okukolera emyoyo egin mu Purgatori? Soma ssappule era weereza Ekitambiro bya Missa; For more parish updates, Reflections, Homilies and Donations, visit www.ourladyofafrica.org - Join our Daily Rosary at 8pm (EAT) and we pray together- you can join through this our Youtube or via Zoom. -